Pular para o conteúdo
Publicidade

Lukka 23:13-25

Piraato Asalira Yesu ogw’Okufa

13 Awo Piraato n’akuŋŋaanya bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abantu, 14 n’abagamba nti, "Mwandeetedde omuntu ono nga mumuwawaabira nti asasamaza abantu bajeeme. Mubuuzizza nnyo era ne neetegereza bulungi ensonga eyo nga nammwe we muli, naye ne nsanga nga talina musango ku ebyo bye mumuwawaabidde. 15 Ne Kerode naye tamulabyeko musango era kyavudde amukomyawo gye tuli. Omuntu ono talina ky’akoze kimusaanyiza kibonerezo kya kufa. 16 Noolwekyo ŋŋenda mukangavvulamu, ndyoke mmusumulule."

17 Ku buli mbaga ya Kuyitako, Piraato ng’ateekwa okubateera omusibe omu. 18 Ekibiina kyonna ne kireekaana nnyo nti, "Oyo mutte! Otuteere Balaba." 19 Balaba ono yali asibiddwa lwa kukulembera kasasamalo mu kibuga, era n’olw’obutemu.

20 Piraato olw’okwagala okusumulula Yesu, n’ayongera okwogera nabo. 21 Naye ne beeyongera okuleekaana nti, "Mukomerere ku musaalaba! Mukomerere ku musaalaba!"

22 Piraato n’ayogera nabo omulundi ogwokusatu nti, "Lwaki? Azzizza musango ki? Sirabye nsonga yonna emusaanyiza kibonerezo kya kufa. Noolwekyo ka mmukangavvule, ndyoke mmusumulule." 23 Naye ne beeyongera nnyo okuleekaana, n’okuwowoggana nga baagala Yesu akomererwe ku musaalaba. Era okuleekaana kwabwe ne kuwangula.

24 Awo Piraato n’akola nga bwe baayagala. 25 N’asumulula Balaba, gwe baasaba eyali asibiddwa olw’okusasamaza abantu n’olw’obutemu. Naye n’abakwasa Yesu bagende bamukole nga bwe baagala.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.