33 Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Ekiwanga, ne bamukomerera awo ku musaalaba, awamu n’abamenyi b’amateeka, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo n’omulala ku ludda olwa kkono. 34 Yesu n’agamba nti, "Kitange, basonyiwe, kubanga kye bakola tebakimanyi." Awo abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.
35 Ekibiina ne kimutunuulira. Abakulembeze b’Abayudaaya ne bamusekerera nga bagamba nti, "Yalokolanga balala, ka tulabe naye bwe yeerokola, obanga ye Kristo wa Katonda Omulonde we."
36 N’abaserikale nabo ne bamuduulira ne bamuwa wayini omukaatuufu, 37 nga bagamba nti, "Obanga ggwe Kabaka w’Abayudaaya, weerokole!"
38 Waggulu w’omutwe gwa Yesu ku musaalaba kwateekebwako ekiwandiiko mu bigambo bino nti,
Ono ye Kabaka w’Abayudaaya.
39 Omu ku bamenyi b’amateeka abaakomererwa naye n’avuma Yesu ng’agamba nti, "Si ggwe Masiya? Kale weerokole era naffe otulokole." 40 Naye munne bwe baakomererwa n’amunenya, n’amugamba nti, "N’okutya totya Katonda, nga naawe oli ku kibonerezo kye kimu kya kufa? 41 Ffe tuvunaaniddwa bya nsonga, kubanga ebikolwa byaffe bitusaanyiza kino. Naye ono talina kisobyo kyonna ky’akoze."
42 N’alyoka agamba nti, "Yesu, onzijukiranga bw’olijja mu bwakabaka bwo."
43 Yesu n’amuddamu nti, "Ddala ddala nkugamba nti olwa leero ojja kubeera nange mu Lusuku lwa Katonda."