34 Yesu n’agamba nti, "Kitange, basonyiwe, kubanga kye bakola tebakimanyi." Awo abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.
43 Yesu n’amuddamu nti, "Ddala ddala nkugamba nti olwa leero ojja kubeera nange mu Lusuku lwa Katonda."
46 Awo Yesu n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, "Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo." Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n’afa.