7 Bwe yategeera nga Yesu Mugaliraaya, n’amuweereza eri Kerode, kubanga Ggaliraaya kyali kifugibwa Kerode, ate nga Kerode mu kiseera ekyo yali ali mu Yerusaalemi.
8 Awo Kerode bwe yalaba Yesu, n’asanyuka nnyo, kubanga yali atutte ekiseera kiwanvu ng’ayagala okulaba Yesu. Era okuva ku ebyo bye yali amuwuliddeko yasuubira ng’ajja kumulaba ng’akolayo ekyamagero. 9 N’amubuuza ebibuuzo bingi, naye Yesu n’atamuddamu. 11 Kerode n’abaserikale be ne batandika okuduulira Yesu, n’okumuvuma. Ne bamwambaza ekyambalo ekinekaaneka, ne bamuzzaayo ewa Piraato. 12 Ku lunaku olwo lwennyini, Kerode ne Piraato, abaali bakyawaganye, ne bafuuka ba mukwano.