Okuzuukira kwa Mukama Waffe
1 Awo ku lunaku Lwassande24:1 Lwassande, lwe lunaku olusooka mu wiiki, lwe lusooka mu wiiki, mu makya ennyo, abakazi ne baddira ebyakaloosa n’amafuta, bye baali bategese, ne bagenda ku ntaana. 2 Ne basanga ejjinja eryali liggadde omulyango oguyingira mu ntaana, nga liyiringisibbwa okudda wabbali. 3 Bwe batyo ne bayingira mu ntaana, naye omulambo gwa Mukama waffe Yesu tebaagusangamu. 4 Ne bayimirira awo nga babuliddwa eky’okukola. Amangwago, abasajja babiri ne balabika mu maaso gaabwe nga bambadde engoye ezimasamasa ng’okumyansa kw’eraddu. 5 Abakazi ne batya nnyo, ne bakutama ne batunula wansi, abasajja ne babagamba nti, "Lwaki omuntu omulamu mumunoonyeza mu ntaana? 6 Taliiwo wano, azuukidde! Mujjukire bye yabagamba nga muli e Ggaliraaya nti, 7 ‘Omwana w’Omuntu, ateekwa okuweebwayo mu mikono gy’abantu ababi, bamukomerere ku musaalaba, naye nga ku lunaku olwokusatu alizuukira.’ "