Pular para o conteúdo
Publicidade

Lukka 24:13,15,16,30-32

Ku Luguudo lw’e Emawu

13 Ku lunaku olwo lwennyini abasajja babiri, abamu ku abo abaagobereranga Yesu, baali batambula nga bagenda mu kabuga akayitibwa Emawu, akaali kilomita nga kkumi na bbiri okuva e Yerusaalemi. 15 Amangwago Yesu yennyini n’abeegattako n’atambula nabo. 16 Kyokka tebaamutegeera, kubanga ekyo Katonda yali akibakisizza.

30 Awo bwe yali ng’alya nabo n’addira omugaati, ne yeebaza n’agumenyamu, n’abawa. 31 Amangwago amaaso gaabwe ne gazibuka ne bamutegeera! Ate n’ababulako mu kaseera ako! 32 Ne batandika okwewuunaganya nga bagamba nti, "Emitima gyaffe tegyabuguumiridde bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo ng’atunnyonnyola Ebyawandiikibwa?"

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.