Pular para o conteúdo
Publicidade

Lukka 4:1-13

Okukemebwa kwa Yesu

1 Awo Yesu, ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, n’avaayo ku mugga Yoludaani, Omwoyo n’amutwala mu ddungu, 2 n’akemebwa Setaani okumala ennaku amakumi ana. Ebbanga eryo lyonna yalimala nga talidde ku mmere, bwe lyaggwaako enjala n’emuluma.

3 Setaani n’agamba Yesu nti, "Obanga oli, Mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke emmere."

4 Naye Yesu n’amuddamu nti, "Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu taabenga mulamu lwa mmere yokka.’ "

5 Awo Setaani n’amulinnyisa waggulu, mu kaseera katono n’amulaga obwakabaka bwonna obw’omu nsi. 6 Setaani n’amugamba nti, "Nzija kukuwa obuyinza ku obwo bwonna n’ekitiibwa kyabwo, kubanga bwonna bwa mpeebwa era nnyinza okubuwa omuntu yenna gwe njagala. 7 Bw’onoofukamira n’onsinza byonna ebyo bijja kuba bibyo."

8 Naye Yesu n’addamu nti, "Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw’oweerezanga yekka.’ "

9 Ate Setaani n’amutwala mu Yerusaalemi, n’amulinnyisa waggulu ku kasolya ka Yeekaalu awasingira ddala obutumbiivu, n’amugamba nti, "Obanga oli Mwana wa Katonda, buuka weesuule wansi. 10 Kubanga kyawandiikibwa nti,

" ‘Katonda aliragira bamalayika be

bakukuume.

11 Era balikuwanirira mu mikono gyabwe,

oleme okwerumya nga weekonye ekigere kyo ku jjinja.’ "

12 Yesu n’addamu nti, "Kyawandiikibwa nti, ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ "

13 Awo Setaani bwe yamaliriza okukema Yesu mu buli ngeri yonna, n’amuviira okutuusa ekiseera ekirala.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.