Pular para o conteúdo
Publicidade

Lukka 6:27-36

27 "Naye mmwe abampuliriza mbagamba nti: Mwagalenga abalabe bammwe, n’ababakyawa mubayisenga bulungi. 28 Ababakolimira mubasabirenga omukisa; ababayisa obubi mubasabirenga. 29 Omuntu bw’akukubanga oluyi ku luba olumu, omukyusizanga n’akukuba ne ku lwokubiri! Omuntu bw’akunyagangako ekkooti yo, n’essaati yo ogimulekeranga. 30 Omuntu yenna akusabanga omuwanga; era n’oyo akuggyangako ebintu byo tobimusabanga kubikuddizza. 31 Kye mwagala abantu okubakoleranga, nammwe mubibakoleranga bwe mutyo."

32 "Bwe munaayagalanga abo ababaagala bokka, munaagasibwa ki? Kubanga n’abakozi b’ebibi bwe beeyisa bwe batyo. 33 Bwe munaayisanga obulungi abo bokka ababayisa obulungi, munaagasibwa ki? Kubanga n’abakozi b’ebibi bwe bakola bwe batyo. 34 Bwe munaawolanga abo bokka be musuubira okubasasula mmwe, munaagasibwangamu ki? Kubanga n’abakozi b’ebibi bawola bakozi ba bibi bannaabwe, basobole okusasulwa omuwendo gwe gumu. 35 Naye mmwe mwagalenga abalabe bammwe! Mubayisenga bulungi! Muwolenga nga temusuubira kusasulwa magoba. Bw’etyo empeera yammwe eriba nnene era muliba baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo. Kubanga wa kisa eri abatasiima n’abakozi b’ebibi. 36 Mubeerenga ba kisa nga Kitammwe bw’ali ow’ekisa."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.