Pular para o conteúdo
Publicidade

Lukka 7

Yesu Azuukiza Mutabani wa Nnamwandu

11 Awo ku lunaku olwaddirira, Yesu n’agenda n’abayigirizwa be n’ekibiina kinene ne kimugoberera mu kibuga ekiyitibwa Nayini. 12 Bwe yali asemberera omulyango gw’ekibuga, laba, abantu ne bafuluma mu kibuga nga beettisse omulambo gw’omuvubuka eyali mutabani w’omukazi nnamwandu, ate nga ye mwana we yekka. Ekibiina ky’abantu abaali bava mu kibuga baali bangi nnyo. 13 Awo Mukama waffe bwe yalaba nnamwandu n’amusaasira, n’amugamba nti, "Tokaaba."

14 N’asemberera essanduuko, abaali bagisitudde ne bayimirira, Yesu n’ayogera nti, "Omuvubuka, nkulagira nti ggolokoka!" 15 Eyali afudde n’atuula era n’atandika okwogera. Yesu n’amuddiza nnyina.

16 Buli omu n’ajjula entiisa, ne batendereza Katonda nga bagamba nti, "Nnabbi ow’amaanyi atulabikidde, era Katonda akyalidde abantu be." 17 Ebigambo ebyo ne bibuna Buyudaaya yonna n’okwetooloola emiriraano gyayo.

Veja também