Yesu Atuma Ekkumi n’Ababiri
1 Awo olunaku lwali lumu Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri bonna awamu, n’abawa obuyinza okugoba baddayimooni ku bantu n’okuwonya endwadde. 2 N’abawa obuyinza n’abatuma bagende bategeeze abantu ebigambo by’obwakabaka bwa Katonda era bawonye n’abalwadde. 3 N’abalagira nti, "Temwetwalira kintu kyonna nga mugenda, wadde omuggo, oba ensawo, oba emmere, wadde ffeeza wadde essaati ebbiri. 4 Na buli nnyumba mwe muyingiranga, mubeerenga omwo, era mwe muba muvanga. 5 Bwe muyingiranga mu kibuga, abantu baamu ne batabaaniriza, mubaviirenga, era bwe mubanga mufuluma mu kibuga ekyo mukunkumulanga enfuufu ku bigere byammwe, ebe omujulirwa eri bo." 6 Ne bagenda nga bava mu kibuga ekimu nga badda mu kirala, nga babuulira Enjiri buli wamu era nga bawonya.