Publicidade

Lucas 9

57 Awo bwe baali bali mu kkubo omu ku bo n’amugamba nti, "Nnaakugobereranga wonna w’onoogendanga."

58 Yesu n’amugamba nti, "Ebibe birina obunnya bwabyo mwe bisula, n’ennyonyi zirina ebisu, naye Omwana w’Omuntu, talina kifo kya kuwumulizaamu mutwe gwe."

59 N’agamba omusajja omulala nti, "Ngoberera."

Omusajja n’addamu nti, "Mukama wange, nzikiriza mmale okugenda okuziika kitange."

60 Yesu n’amugamba nti, "Leka abafu baziike abafu baabwe, naye ggwe genda olangirire obwakabaka bwa Katonda."

61 N’omulala n’agamba Yesu nti, "Nnaakugobereranga Mukama wange. Naye sooka ondeke mmale okusiibula ab’omu maka gange."

62 Naye Yesu n’amuddamu nti, "Omuntu yenna akwata ekyuma ekirima mu ngalo ze ate n’atunula emabega, tasaanira bwakabaka bwa Katonda."

Veja também

Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-07-05_19-25-13-