1 Nze muntu eyakangavvulwa
n’omuggo ogw’obusungu bwe.
2 Angobye mu maaso ge n’antambuliza
mu kizikiza, awatali kitangaala;
3 ddala, omukono gwe gunnwanyisizza
emirundi egiddiriŋŋanwa olunaku lwonna.
21 Ebyo byonna mbijjukira,
kyenvudde mbeera n’essuubi.
22 Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo,
tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo.
23 Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya;
n’obwesigwa bwo bwa lubeerera.
24 Njogera mu mutima gwange nti, "Mukama gwe mugabo gwange,
kyenaava mbeera n’essuubi mu ye."
25 Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi,
eri oyo amunoonya.
26 Kirungi omuntu okulindirira
obulokozi bwa Mukama n’obukkakkamu.