10 "Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Bwe mutuukanga mu nsi gye nzija okubawa ne mukungula ebibala byamu, muleetanga eri kabona ekinywa eky’ebibala byammwe eby’olubereberye; 11 naye anaawuubawuubanga ekinywa ekyo awali Mukama Katonda kiryoke kikkirizibwe ku lwammwe. Kabona anaakiwuubawuubanga ku lunaku oluddirira Ssabbiiti.
Embaga eya Pentekoote
15 "Okuva ku lunaku oluddirira Ssabbiiti, nga lwe lunaku kwe mwaleetera ekiweebwayo eky’ekinywa ekiwuubibwawuubibwa mubalanga ewiiki enzijuvu musanvu. 16 Munaabalanga ennaku amakumi ataano okutuuka ku Ssabbiiti ey’omusanvu, ne mulyoka muwaayo eri Mukama ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke empya eyaakakungulwa.