32 " ‘Bw’anaabanga aleese endiga ento ng’ekiweebwayo kye olw’ekibi, anaaleetanga nkazi etaliiko kamogo. 33 Anaagikwatanga ku mutwe, n’agittira awo awattirwa ebiweebwayo ebyokebwa, nga kye kiweebwayo olw’ekibi. 35 Amasavu gaayo anaagaggyangamu nga ag’omu biweebwayo olw’emirembe bwe gaggyibwamu, era kabona anaagookeranga ku kyoto ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga.
Publicidade