Pular para o conteúdo
Publicidade

Makko 11:27-33

Yesu Abuuzibwa Obuyinza gy’Abuggya

27 Yesu n’abayigirizwa be bwe baakomawo mu Yerusaalemi yali atambulatambula mu Yeekaalu, bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bajja gy’ali 28 ne bamubuuza nti, "Buyinza ki obukukoza bino? Era ani yakuwa obuyinza okukola bino?"

29 Naye Yesu n’abaddamu nti, "Bwe munaamala okunziramu ekibuuzo kyange kimu, nange n’ababuulira eyampa obuyinza obwo! 30 Okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu oba kwava eri bantu? Munziremu!"

31 Ne bakubaganya ebirowoozo bokka na bokka nti, "Bwe tuddamu nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale, lwaki temwamukkiriza?’ 32 Naye, ate bwe tuddamu nti, ‘Kwava eri bantu.’ " Baali batya ekibiina ky’abantu. Kubanga buli muntu yalowooza Yokaana okuba nnabbi.

33 Ne baddamu Yesu nti, "Tetumanyi."

Awo Yesu n’abaddamu nti, "Nange sijja kubabuulira obuyinza obunkoza ebintu ebyo gye mbuggya."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.