Okuwa Kayisaali Omusolo
13 Ne bamuweereza abamu ku Bafalisaayo n’Abakerodiyaani boogere, bagezeeko okumutega mu bigambo. 14 Awo ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, "Omuyigiriza, tumanyi ng’oyogera mazima era tolina gw’otya. Toffaayo ku nfaanana y’abantu, wabula amazima ameereere, era oyigiriza ekkubo lya Katonda. Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba tetugumuwa?"12:14 Okuwa Kayisaali omusolo: Abayudaaya mu Yuda baali bateekwa okuwa Kayisaali omusolo. Bangi ku bo baali tebakkiriziganya kalombolombo ako, kubanga baalowooza nga kyali kukkiriza bufuzi bw’Abaruumi
17 N’abagamba nti, "Kale ebintu bya Kayisaali mubiwenga Kayisaali n’ebya Katonda, mubiwenga Katonda!"
Ne bamwewuunya nnyo.
Yesu Abuuzibwa ku by’Okuzuukira
18 Awo Abasaddukaayo abagamba nti tewali kuzuukira, ne bamubuuza nti,
Etteeka Ekkulu
28 Awo omu ku bannyonnyozi b’amateeka eyali ayimiridde awo ng’awuliriza bye baali beebuuza, n’ategeera nga Yesu azzeemu bulungi. Naye n’amubuuzaayo nti, "Mu mateeka gonna, erisingamu obukulu lye liruwa?"
29 Yesu n’amuddamu nti, "Ery’olubereberye lye lino nti, ‘Wulira, Isirayiri! Mukama Katonda waffe, Mukama ali omu yekka. 30 Era yagala Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’omwoyo gwo gwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.’ 31 N’eryokubiri lye lino nti, ‘Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ Tewaliiwo mateeka malala gasinga ago bukulu."