Pular para o conteúdo
Publicidade

Makko 12:41-44

Ekirabo kya Nnamwandu

41 Awo Yesu bwe yatuula okwolekera eggwanika ly’ensimbi, n’alaba engeri ekibiina ky’abantu gye bateekamu ensimbi mu ggwanika. Abagagga bangi baali bateekamu ensimbi nnyingi.12:41 Etterekero ly’ensimbi mu yeekaalu lyabeeranga mu luggya lw’abakazi. Abasajja n’abakazi bakkirizibwanga mu luggya olwo, kyokka ng’abakazi bo bakoma awo, ate abasajja bo nga beeyongerayo munda mu yeekaalu 42 Awo nnamwandu eyali omwavu n’ajja n’ateekamu ebitundu bibiri, ye kodulante.12:42 ze ssente ezaali zisingirayo ddala okuba eza wansi mu muwendo mu Palesitayini mu biro ebyo

43 Yesu n’ayita abayigirizwa be, n’abagamba nti, "Ddala ddala mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu awaddeyo nnyo okusinga bonna bali abatadde mu ggwanika. 44 Kubanga bonna bataddemu ku bibafikkiridde, naye ate nnamwandu ono mu kwetaaga kwe ataddemu kyonna ky’abadde nakyo, ekibadde kijja okumuyamba obulamu bwe bwonna."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.