43 Yesu yali akyayogera, amangwago Yuda (omu ku batume be ekkumi n’ababiri) n’ajja ng’ali n’ekibiina kinene, ekyava ewa bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, nga balina ebitala era nga bakutte emiggo.
Yesu mu Maaso g’Olukiiko
53 Awo Yesu n’atwalibwa eri Kabona Asinga Obukulu, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya n’abannyonnyozi b’amateeka.
55 Bakabona abakulu, n’Abasaddukaayo bonna,14:55 Olukiiko olwo baaluyitanga Saniheduliini baali banoonya obujulizi kwe banaasinziira okutta Yesu, naye ne bubabula.
61 Yesu n’atamuddamu kintu. Ate Kabona Asinga Obukulu n’amubuuza nti, "Ggwe Kristo, Omwana w’oyo atenderezebwa?"
62 Yesu n’addamu nti, "Ye Nze, era mugenda kulaba Omwana w’Omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna, ng’akomawo mu bire eby’eggulu."
63 Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayuza ebyambalo bye, n’agamba nti, "Ate twetaagira ki abajulizi? 64 Muwulidde obuvvoozi. Musala mutya omusango guno?"
Bonna ne bamusalira gwa kufa. 65 Abamu ne batandika okumuwandulira amalusu, ne bamusiba kantuntunu ku maaso, ne bamukuba empi mu maaso, nga bwe bamuduulira nga bagamba nti, "Lagula." N’abaserikale nabo ne bamukuba ebikonde nga bamufulumya.