43 Yesu yali akyayogera, amangwago Yuda (omu ku batume be ekkumi n’ababiri) n’ajja ng’ali n’ekibiina kinene, ekyava ewa bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, nga balina ebitala era nga bakutte emiggo.
44 Yuda yali abagambye nti, "Gwe nnanywegera, ye wuuyo mumukwate, mumutwale nga mumunywezezza." 45 Awo baali baakatuuka Yuda n’alaga eri Yesu, bwe yamutuukako n’agamba nti, "Omuyigiriza!" N’amugwa mu kifuba. 46 Ne bavumbagira Yesu ne bamukwata, ne bamunyweza.
50 Bonna ne bamwabulira ne badduka.