Yesu Akomererwa ku Musaalaba
21 Bwe baali bagenda ne basanga omusajja erinnya lye Simooni ow’e Kuleene,15:21 Kuleene kyali kibuga kikulu mu nsi y’e Libiya esangibwa mu bukiikakkono bwa Ssemazinga Afirika. Kyalimu Abayudaaya bangi, era kirabika nga Simooni yali omu ku Bayudaaya abaabeeranga mu kibuga ekyo abaali bazze okukwata Embaga ey’Okuyitako mu Yerusaalemi kitaawe wa Alegezanda ne Luufo eyali ava mu kyalo, ne bamuwaliriza yeetikke omusaalaba gwa Yesu. 22 Awo ne batwala Yesu ne bamutuusa mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu gaakyo nti Ekifo ky’Ekiwanga. 24 Awo ne bamukomerera ku musaalaba.
Ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu. 25 Baamukomerera ku ssaawa ssatu ez’enkya. 26 Ne batimba ekipande waggulu w’omutwe gwa Yesu, okwawandiikibwa nti,
"Kabaka w’Abayudaaya."
27 Waaliwo abanyazi babiri abaakomererwa awamu naye, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, n’omulala ku kkono.