25 Baamukomerera ku ssaawa ssatu ez’enkya.
Okufa kwa Yesu
33 Okuva ku ssaawa mukaaga ez’omu ttuntu okutuukira ddala ku ssaawa mwenda ez’olweggulo, ekizikiza ne kikwata ensi yonna. 34 Awo Yesu n’akoowoola n’eddoboozi eddene nti, "Eroi, Eroi, lama, sabakusaani?" Amakulu nti, "Katonda wange, Katonda wange, Lwaki onjabulidde?"
37 Awo Yesu n’akoowoola n’eddoboozi ddene, n’awaayo obulamu bwe.