Pular para o conteúdo
Publicidade

Makko 2:23-28

Yesu ye Mukama wa Ssabbiiti

23 Awo mu biro ebyo Yesu yali ayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke ku Ssabbiiti, abayigirizwa be ne batandika okunoga ku birimba by’emmere ey’empeke. 24 Abafalisaayo ne bagamba Yesu nti, "Lwaki abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa ku Ssabbiiti." 25 Yesu n’abaddamu nti, "Temusomanga ku Dawudi kye yakola bwe yalina okwetaaga n’enjala ng’emuluma, ye ne be yali nabo, 26 bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda mu biro bya Abiyasaali kabona omukulu, n’alya emigaati egy’okulaga n’awaako n’abo be yali nabo, egitakkirizibwa kuliibwako bantu balala okuggyako bakabona." 27 N’abagamba nti, "Ssabbiiti yateekebwawo lwa muntu, so si omuntu ku lwa Ssabbiiti. 28 Noolwekyo Omwana w’Omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.