Publicidade

Marcos 3

Baganda ba Yesu ne Nnyina

31 Awo baganda ba Yesu ne nnyina ne bajja gy’ali ebweru nga baagala okumulaba. Awo ne bamutumira bamuyite ajje ayogere nabo. 32 Ekibiina ky’abantu kyali kimwetoolodde, ne bamugamba nti, "Nnyoko ne baganda bo ne bannyoko bali wabweru bakunoonya."

33 Naye n’abaddamu nti, "Mmange ye ani, ne baganda bange be baani?"

34 Awo bwe yeetoolooza amaaso abo abaali batudde nga bamwebunguludde, n’abagamba nti, "Bano be mulaba be bammange era be baganda bange! 35 Kubanga buli muntu akola Katonda by’asiima ye muganda wange, ye mwannyinaze era ye mmange."

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-29_22-07-56-