Yesu Akkakkanya Omuyaga
35 Ku lunaku olwo obudde nga buwungedde Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, "Tuwunguke tulage emitala." 36 N’aleka awo ekibiina, abayigirizwa be ne balinnya mu lyato Yesu mwe yali ne bagenda naye. Abantu abamu ne babagobera mu maato agaabwe. 37 Amangwago omuyaga mungi nnyo ne gukunta n’amayengo amagulumivu ne geeyiwa mu lyato ne libulako katono okujjula amazzi. 38 Yesu yali agalamidde emabega mu lyato nga yeezizise omutto yeebase. Awo abayigirizwa be ne bamuzuukusa nga bagamba nti, "Omuyigiriza, ggwe tofaayo nga ffenna tugenda okusaanawo?"
39 N’azuukuka n’aboggolera omuyaga n’agamba ennyanja nti, "Tteeka, sirika." Omuyaga ne gusirika n’ennyanja n’eteekera ddala.
40 N’ababuuza nti, "Lwaki mutidde? Temunnaba kubeera na kukkiriza?"
41 Ne batya nnyo, ne beebuuza nti, "Ono ye ani, embuyaga n’ennyanja gwe bigondera?"