Nnabbi Tabulwa Kitiibwa Okuggyako Ewaabwe
1 Yesu n’ava mu kitundu ekyo n’abayigirizwa be n’addayo mu kibuga ky’ewaabwe.6:1 Ekibuga ky’ewaabwe ekyogerwako ky’ekibuga ky’e Nazaaleesi 2 Olunaku lwa Ssabbiiti bwe lwatuuka n’agenda mu kkuŋŋaaniro okuyigiriza, abantu bangi abaaliwo ne beewuunya nnyo bwe baawulira bw’ayigiriza, ne bawuniikirira ne beebuuza nti, "Bino byonna yabiyigira wa era magezi ga ngeri ki ono ge yaweebwa n’eby’amagero ebyenkanidde wano by’akola?" 3 Ne beebuuza nti, "Ono si ye mwana w’omubazzi? Maliyamu si ye nnyina, ne baganda be si be ba Yakobo, ne Yose, ne Yuda ne Simooni? Ne bannyina tetubeera nabo kuno?" Ekyo ne kibatawanya mu mutima.
4 Yesu n’abagamba nti, "Nnabbi aweebwa ekitiibwa buli wantu okuggyako mu nsi y’ewaabwe ne mu bantu be ne mu maka ge waabwe." 5 Naye teyakolerayo byamagero bingi okuggyako abalwadde abatonotono be yakwatako n’abawonya. 6 N’awuniikirira nnyo okulaba nga tebamukkirizza. Awo n’agenda ng’ayigiriza mu byalo ebiriraanyeewo.