14 Awo Kabaka Kerode n’awulira ettutumu lya Yesu, kubanga yali ayogerwako wonna olw’ebyamagero bye yakolanga. Naye Kerode n’alowooza nti Yokaana Omubatiza y’azuukidde, kubanga abantu baayogeranga nti, "Tewali muntu mulala ayinza kukola byamagero nga bino."
15 Naye abalala ne balowooza nti, "Eriya."
N’abalala ne bagamba nti, "Nnabbi ng’omu ku bannabbi ab’edda."
16 Kerode bwe yabiwulira ye n’agamba nti, "Oyo Yokaana, omusajja gwe natemako omutwe, y’azuukide mu bafu."