Pular para o conteúdo
Publicidade

Marcos 6

Okukomawo kw’Abatume gye baagenda Okubuulira

30 Awo abatume ne bakomawo awali Yesu ne bamunnyonnyola byonna bye baakola ne bye baayigiriza. 31 N’abagamba nti, "Mujje tugende mu kifo eteri bantu tuwummuleko." Kubanga baali babuliddwa n’akaseera ak’okuliiramu ku mmere olw’abantu abangi abajjanga gye bali; bano baabanga baakavaawo ate ng’abalala bajja.

32 Bwe batyo ne balinnya mu lyato ne bagenda mu kifo ekiwolerevu eteri bantu.

Yesu Aliisa Abantu Enkumi Ettaano

33 Naye abantu bangi abaava mu bibuga bingi ne babalaba nga bagenda ne bategeera gye baali bagenda ne badduka okwetooloola ku lukalu ne babeesookayo. 34 Yesu bwe yava mu lyato n’alaba ekibiina ky’abantu bangi abaali bakuŋŋaanye n’abasaasira nga bali ng’endiga ezitalina musumba. Awo n’atandika okubayigiriza ebintu bingi.

35 Awo obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ne bajja awali Yesu ne bamugamba nti, "Ekifo kino kya ddungu ate n’obudde buwungedde. 36 Abantu basiibule bagende beegulire emmere mu byalo ne mu bibuga ebiriraanye wano."

37 Naye Yesu n’abaddamu nti, "Mmwe mubawe ekyokulya." Ne bamubuuza nti, "Tugende tubagulire emmere nga ya dinaali ebikumi bibiri, tugibawe balye?"

38 Yesu n’ababuuza nti, "Mulina emigaati emeka? Mugende mulabe." Bwe baamala okwetegereza ne bamugamba nti, "Waliwo emigaati etaano n’ebyennyanja bibiri."

39 Awo Yesu n’alagira abantu bonna batuule wansi ku muddo mu bibinja. 40 Awo ne batuula mu bibinja, eby’abantu ataano ataano, awalala kikumi kikumi. 41 Yesu n’atoola emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri n’ayimusa amaaso ge eri eggulu ne yeebaza Katonda. N’amenyaamenya emigaati n’ebyennyanja ebibiri, n’abiwa abayigirizwa be ne bagabula abantu bonna ne babuna. 42 Bonna ne balya ne bakkuta. 43 Ne bakuŋŋaanya obukunkumuka bw’emigaati n’obwebyennyanja ebisero kkumi na bibiri. 44 Abasajja abaalya emigaati baali enkumi ttaano.

Veja também