6 Yesu n’abaddamu nti, "Bannanfuusi mmwe! Nnabbi Isaaya yaboogerako bulungi ebyobunnabbi bwe yagamba nti,
" ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa,
naye emitima gyabwe tegindiiko.
7 Okusinza kwabwe tekuliimu nsa;
kubanga bayigiriza bulombolombo bwabwe.’
8 Muleka ebiragiro ebiva eri Katonda ne mugoberera obulombolombo bw’abantu."