34 Awo Yesu n’ayita ekibiina wamu n’abayigirizwa be, n’abagamba nti, "Obanga waliwo omuntu ayagala okungoberera, asaanidde okwefiiriza asitule omusaalaba gwe alyoke angoberere. 35 Kubanga buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa. Naye oyo awaayo obulamu bwe ku lwange ne ku lw’Enjiri alibuwonya. 36 Kale omuntu agasibwa ki singa alya ensi yonna, naye n’afiirwa obulamu bwe? 37 Omuntu ayinza kuweebwa ki, akiwanyise olw’obulamu bwe? 38 Era buli muntu yenna ankwatirwa ensonyi, n’ebigambo byange ne bimukwasa ensonyi mu mulembe guno ogutali mwesigwa era ogujjudde ebibi, Omwana w’Omuntu alimukwatirwa ensonyi bw’alijja mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu."
Publicidade
Publicidade