17 Omu ku basajja abaali mu kibiina ne yeesowolayo n’agamba nti, "Omuyigiriza, naleese wano omwana wange omuwonye. Tayinza kwogera aliko omwoyo omubi.
22 Oluusi gumusuula mu muliro oluusi mu mazzi nga gwagala okumutta. Obanga olina ky’osobola okutukolera, tusaasire."
23 Yesu n’amuddamu nti, "Obanga osobola! Buli kimu kisoboka eri oyo akkiriza."
24 Amangwago Kitaawe w’omwana n’ayogerera waggulu nti, "Nzikiriza, naye nnyamba okukkiriza kwange kweyogereko!"