7 Okuva mu nnaku za bajjajjammwe mwakyuka ne mukyama okuva ku biragiro byange ne mutabikwata. Mudde gye ndi, nange nadda gye muli era nnaabasonyiwa," bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
"Naye mwebuuza nti, ‘Tunadda tutya?’
8 "Omuntu alinyaga Katonda?
"Naye mmwe munnyaga. Kyokka mugamba nti, ‘Tukunyaga tutya?’
"Mu biweebwayo ne mu kimu eky’ekkumi. 9 Mukolimiddwa ekikolimo ekyo, kubanga mmwe, eggwanga lyonna munnyaga nze. 10 Muleete ekimu eky’ekkumi ekijjuvu mu nnyumba yange, ennyumba yange ebeeremu emmere, era mungezese," bw’ayogera Mukama ow’Eggye, "obanga siribaggulirawo ebituli eby’omu ggulu, ne mbawa omukisa ne gutabaako ne we guligya. 11 Kale ndikuuma ennimiro zammwe ne zitazikirizibwa balabe; so n’omuzabbibu gwammwe ne gutakunkumula bibala byagwo ebitannatuuka kwengera," bw’ayogera Mukama ow’Eggye.