26 "Noolwekyo temubatyanga. Teri kyakisibwa ekitalimanyibwa, era tewali kyakwekebwa ekitalizuulibwa. 27 Buli kye mbabuulira mu kizikiza mukyogereranga mu musana, na buli kye mbagamba mu kaama, nakyo mukyasanguzanga waggulu ku nnyumba. 28 Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo n’omubiri mu ggeyeena. 29 Enkazaluggya ebbiri tezigula sente emu? Naye tewali n’emu ku zo eyinza okuttibwa nga Kitammwe tamanyi. 30 Era buli luviiri oluli ku mitwe gyammwe lwabalibwa. 31 Kale temweraliikiriranga kubanga mmwe muli ba muwendo munene eri Kitammwe okusinga enkazaluggya ennyingi.
Publicidade