Pular para o conteúdo
Publicidade

Matayo 11

20 Yesu n’anenya nnyo ebibuga mwe yakolera ebyamagero ebisinga obungi, kubanga tebeenenya. 21 "Zikusanze, ggwe Kolaziini! Zikusanze ggwe Besusayida! Kubanga ebyamagero bye nakolera mu mmwe, singa nabikolera mu Ttuulo ne mu Sidoni, bandibadde beenenya dda nga bali mu bibukutu n’evvu ku mitwe gyabwe. 22 Ddala ddala Ttuulo ne Sidoni biriyisibwa bulungiko okusinga mmwe ku lunaku olw’okusalirako omusango! 23 Naawe Kaperunawumu, newaakubadde nga wagulumizibwa okutuuka eggulu gye likoma, naye oliserengesebwa wansi emagombe. Kubanga ebyamagero eby’ekitalo ebyakolebwa ewuwo, singa byakolerwa mu Sodomu, kyandibadde kikyaliwo ne leero. 24 Ddala ddala Sodomu kigenda kuyisibwa bulungiko, okusinga ggwe, ku lunaku olw’okusalirako omusango!"

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também