7 Awo abayigirizwa ba Yokaana Omubatiza bwe baamala okugenda, Yesu n’ategeeza abantu ebya Yokaana nti, "Bwe mwagenda mu ddungu mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa n’empewo? 8 Naye kiki kye mwagenda okulaba? Omuntu ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba abambala engoye ennungi babeera mu mbiri za bakabaka. 9 Naye mwagenda kulaba ki? Nnabbi. Weewaawo ka mbabuulire, oyo asinga ne nnabbi. 10 Kubanga ye oyo ayogerwako mu Byawandiikibwa nti,
" ‘Ndiweereza omubaka wange akukulembere,
alikuteekerateekera ekkubo nga tonnajja.’