Yesu ne Beeruzebuli
22 Awo Yesu ne bamuleetera omusajja eyaliko dayimooni, nga muzibe w’amaaso era nga tayogera. N’amuwonya, omusajja eyali tasobola kwogera n’asobola okwogera n’okulaba. 23 Abantu bonna ne beewuunya ne boogera nti, "Ddala ddala ono si mwana wa Dawudi?"
24 Naye Abafalisaayo bwe baakiwulira ne boogera nti, "Ono agoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni."
28 Naye bwe mba ngoba baddayimooni n’amaanyi g’Omwoyo wa Katonda, kale Obwakabaka bwa Katonda buzze gye muli.