Akabonero ka Nnabbi Yona
38 Awo abamu ku bannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne bagamba Yesu nti, "Omuyigiriza twagala otulage akabonero."
39 Naye n’abaddamu nti, "Omulembe omwonoonefu era omwenzi ogunoonya akabonero; temugenda kuweebwa kabonero okuggyako aka nnabbi Yona.