Yesu ne Baganda be ne Nnyina
46 Yesu bwe yali akyayogera n’ekibiina, nnyina ne baganda be ne batuuka ne bayimirira ebweru nga baagala okwogera naye. 47 Omuntu omu n’amutegeeza nti, "Nnyoko ne baganda bo, bali wabweru baagala kwogera nawe."
48 Yesu n’amuddamu nti, "Mmange ye ani era ne baganda bange be baani?" 49 N’agolola omukono gwe eri abayigirizwa be n’agamba nti, "Mulabe mmange ne baganda bange! 50 Kubanga buli akola ebyo Kitange ali mu ggulu by’ayagala oyo ye muganda wange, ye mwannyinaze era ye mmange."