Pular para o conteúdo
Publicidade

Matayo 13:10-17

10 Abayigirizwa be ne bamusemberera ne bamubuuza nti, "Lwaki oyogera nabo mu ngero?"

11 N’abaddamu nti, "Mmwe mulina omukisa kubanga mwaweebwa okutegeera ebyama eby’obwakabaka obw’omu ggulu, naye bo tebaakiweebwa. 12 Kubanga buli alina alyongerwako abeerere ddala na bingi, naye oyo atalina aliggyibwako n’ako akatono k’alina. 13 Kyenva njigiriza mu ngero:

"Abalaba baleme okulaba,

n’abawulira baleme okuwulira wadde okutegeera.

14 Kino kituukiriza nnabbi Isaaya kye yagamba nti,

" ‘Muliwulira naye temulitegeera

n’okulaba muliraba naye temulimanya.

15 Kubanga omutima gw’abantu bano

gwesibye,

n’amatu gaabwe tegawulira bulungi.

N’amaaso gaabwe gazibiridde baleme okulaba n’amaaso wadde okuwulira n’amatu,

wadde omutima gwabwe okutegeera,

ne bakyuka

ne mbawonya.’

16 Naye amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba, n’amatu gammwe kubanga gawulira. 17 Ddala ddala mbagamba nti, Waaliwo bannabbi bangi, n’abatuukirivu bangi abeegombanga okulaba ku bino bye mulaba, n’okuwulira bye muwulira kyokka ne batafuna mukisa ogwo.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.