Publicidade

Mateus 13

3 N’ababuulira ebintu bingi mu ngero ng’agamba nti, "Omulimi yali asiga ensigo mu nnimiro ye. 4 Bwe yagenda ng’amansa ensigo, ezimu ne zigwa ku mabbali g’ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya. 5 Endala ne zigwa ku lwazi okutali ttaka lingi era ne zimera mangu kubanga ettaka teryali ggwanvu. 6 Naye omusana bwe gwayaka ne ziwotoka kubanga emirandira gyazo gyali kumpi. 7 Endala ne zigwa mu maggwa, bwe zaamera amaggwa nago ne gakula ne gazisinga amaanyi, obulimi obwali bwakamera ne bukala. 8 Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zimera ne zibala bulungi, ne zivaamu emirundi amakumi asatu, n’endala emirundi nkaaga n’endala emirundi kikumi. 9 Alina amatu agawulira, awulire."

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-28_14-13-17-