Pular para o conteúdo
Publicidade

Matayo 14:25-31

25 Awo ku ssaawa nga mwenda ez’ekiro, Yesu n’ajja gye bali ng’atambula ku nnyanja. 26 Naye abayigirizwa bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja ne batya, nga balowooza nti muzimu.

27 Awo amangwago Yesu n’abagamba nti, "Mugume, Nze nzuuno temutya."

28 Peetero n’amugamba nti, "Obanga ye ggwe ddala Mukama waffe, ndagira nange nzije gy’oli nga ntambulira ku mazzi."

29 Yesu n’amuddamu nti, "Kale jjangu." Peetero n’ava mu lyato n’atambulira ku mazzi okugenda eri Yesu.

30 Naye Peetero bwe yalaba omuyaga ogw’amaanyi, n’atya n’atandika okusaanawo, n’akoowoola Yesu nti, "Mukama wange, ndokola!"

31 Amangwago Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwata, n’amugamba nti, "Ggwe alina okukkiriza okutono, lwaki obuusizzabuusizza?"

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.