Pular para o conteúdo
Publicidade

Mateus 14

28 Peetero n’amugamba nti, "Obanga ye ggwe ddala Mukama waffe, ndagira nange nzije gy’oli nga ntambulira ku mazzi."

29 Yesu n’amuddamu nti, "Kale jjangu." Peetero n’ava mu lyato n’atambulira ku mazzi okugenda eri Yesu.

30 Naye Peetero bwe yalaba omuyaga ogw’amaanyi, n’atya n’atandika okusaanawo, n’akoowoola Yesu nti, "Mukama wange, ndokola!"

31 Amangwago Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwata, n’amugamba nti, "Ggwe alina okukkiriza okutono, lwaki obuusizzabuusizza?"

Veja também