Pular para o conteúdo
Publicidade

Matayo 16:13,16,21-24,28

Peetero Ayatula Kristo

13 Awo Yesu bwe yatuuka mu kitundu kya Kayisaliya ekya Firipo n’abuuza abayigirizwa be nti, "Abantu Omwana w’Omuntu bagamba nti ye ani?"

16 Simooni Peetero n’addamu nti, "Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu."

21 Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okunnyonnyola abayigirizwa be nga bwe kimugwanidde okugenda e Yerusaalemi, abakulembeze b’Abayudaaya ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka bamubonyeebonye, era bamutte; naye ku lunaku olwokusatu azuukire.

22 Peetero n’amuzza ebbali n’atandika okumunenya ng’amugamba nti, "Katonda akulage ekisa Mukama waffe. Bino tebirikutuukako."

23 Naye Yesu n’akyukira Peetero n’amugamba nti, "Dda ennyuma wange Setaani. Oli kyesittaza gye ndi, kubanga tolowoozeza bintu bya Katonda wabula olowooza bintu bya bantu."

24 Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, "Omuntu bw’ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka, yeetikke omusaalaba gwe alyoke angoberere.

28 "Ddala ddala mbagamba nti ku mmwe abali wano kuliko abatalirega ku kufa okutuusa lwe baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja n’obwakabaka bwe."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.