Publicidade

Mateus 16

Peetero Ayatula Kristo

13 Awo Yesu bwe yatuuka mu kitundu kya Kayisaliya ekya Firipo n’abuuza abayigirizwa be nti, "Abantu Omwana w’Omuntu bagamba nti ye ani?"

14 Ne bamuddamu nti, "Yokaana Omubatiza, abalala nti Eriya, n’abalala nti Yeremiya oba omu ku bannabbi."

15 Awo Yesu n’ababuuza nti, "Mmwe mundowooza kuba ani?"

16 Simooni Peetero n’addamu nti, "Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu."

Veja também

Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-07-05_19-25-13-