Peetero Ayatula Kristo
13 Awo Yesu bwe yatuuka mu kitundu kya Kayisaliya ekya Firipo n’abuuza abayigirizwa be nti, "Abantu Omwana w’Omuntu bagamba nti ye ani?"
14 Ne bamuddamu nti, "Yokaana Omubatiza, abalala nti Eriya, n’abalala nti Yeremiya oba omu ku bannabbi."
15 Awo Yesu n’ababuuza nti, "Mmwe mundowooza kuba ani?"
16 Simooni Peetero n’addamu nti, "Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu."
17 Yesu n’amugamba nti, "Olina omukisa Simooni, omwana wa Yona, kubanga ekyo Kitange ali mu ggulu y’akikubikkulidde, so tokiggye mu bantu. 18 Era nkutegeeza nti, Ggwe Peetero, olwazi, era ku lwazi okwo kwe ndizimba Ekkanisa yange, n’amaanyi gonna aga Setaani tegaligiwangula. 19 Era ndikuwa ebisumuluzo by’obwakabaka obw’omu ggulu; era kyonna ky’onoosibanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasibwanga, na buli ky’onoosumululanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasumululwanga." 20 Awo n’akuutira abayigirizwa be baleme kubuulirako muntu n’omu nti Ye Kristo.
21 Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okunnyonnyola abayigirizwa be nga bwe kimugwanidde okugenda e Yerusaalemi, abakulembeze b’Abayudaaya ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka bamubonyeebonye, era bamutte; naye ku lunaku olwokusatu azuukire.
22 Peetero n’amuzza ebbali n’atandika okumunenya ng’amugamba nti, "Katonda akulage ekisa Mukama waffe. Bino tebirikutuukako."
23 Naye Yesu n’akyukira Peetero n’amugamba nti, "Dda ennyuma wange Setaani. Oli kyesittaza gye ndi, kubanga tolowoozeza bintu bya Katonda wabula olowooza bintu bya bantu."