Pular para o conteúdo
Publicidade

Matayo 17:1-13

Okufuusibwa kwa Yesu

1 Oluvannyuma lw’ennaku mukaaga Yesu n’atwala Peetero, ne Yakobo ne Yokaana muganda we, n’abalinnyisa ku lusozi oluwanvu. 2 N’afuusibwa nga balaba, amaaso ge ne gamasamasa ng’enjuba n’ebyambalo bye ne byeruka ne byakaayakana. 3 Laba Musa ne Eriya ne balabika, ne boogera ne Yesu.

4 Peetero n’agamba Yesu nti, "Mukama waffe, nga kya kitalo nnyo ffe okubeera wano! Bw’oba ng’osiimye, nzimbe wano ensiisira ssatu, emu yiyo endala ya Musa n’endala ya Eriya."

5 Bwe yali akyayogera ebyo ekire ekimasamasa ne kiva waggulu ne kibabuutikira eddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti, "Ono ye Mwana wange gwe njagala ennyo, era gwe nsanyukira ennyo. Mumuwulirenga."

6 Abayigirizwa bwe baakiwulira ne bagwa wansi ne beevuunika nga batidde nnyo. 7 Yesu n’ajja gye bali n’abakwatako n’abagamba nti, "Mugolokoke temutya." 8 Bwe babbulula amaaso, baalabawo Yesu yekka!

9 Bwe baali baserengeta olusozi, Yesu n’abakuutira nti, "Ebyo bye mulabye temubibuulirako omuntu n’omu okutuusa Omwana w’Omuntu lw’alimala okuzuukira mu bafu."

10 Abayigirizwa ne bamubuuza nti, "Kale lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti, Eriya kimugwanira okumala okujja?"

11 Yesu n’abaddamu nti, "Weewaawo, Eriya alijja n’azzaawo ebintu byonna. 12 Naye mbagamba nti, Eriya yajja dda, naye tebaamutegeera, era naye ne bamukola buli kye baayagala. Bw’atyo n’Omwana w’Omuntu anaatera okubonyaabonyezebwa." 13 Awo abayigirizwa be ne bategeera nti yali ayogera ku Yokaana Omubatiza.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.