Pular para o conteúdo
Publicidade

Matayo 17

Omusolo gwa Yeekaalu

24 Bwe baatuuka e Kaperunawumu abasolooza b’omusolo gwa Yeekaalu babiri ne bajja eri Peetero ne bamubuuza nti, "Mukama wammwe tawa musolo?"

25 Peetero n’abaddamu nti, "Awa!"

Peetero n’ayingira mu nnyumba. Naye Yesu n’amwesooka n’amubuuza nti, "Olowooza otya Simooni, bakabaka b’ensi basolooza omusolo ku bantu baabwe abatuuze oba ku bannamawanga be baba bawangudde?"

26 Peetero n’addamu nti, "Basolooza ku bannamawanga."

Yesu n’amugamba nti, "Kale bannansi bo ba ddembe." 27 "Naye obutabanyiiza, genda ku nnyanja osuulemu eddobo, ekyennyanja ky’onoosooka okukwasa okyasamye akamwa. Mu kamwa kaakyo onoolabamu esutateri,17:27 Esutateri ze nnusu nnya ozitwale oziweeyo osasule omusolo gwange n’ogugwo."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Veja também