9 Bwe baali baserengeta olusozi, Yesu n’abakuutira nti, "Ebyo bye mulabye temubibuulirako omuntu n’omu okutuusa Omwana w’Omuntu lw’alimala okuzuukira mu bafu."
10 Abayigirizwa ne bamubuuza nti, "Kale lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti, Eriya kimugwanira okumala okujja?"
11 Yesu n’abaddamu nti, "Weewaawo, Eriya alijja n’azzaawo ebintu byonna. 12 Naye mbagamba nti, Eriya yajja dda, naye tebaamutegeera, era naye ne bamukola buli kye baayagala. Bw’atyo n’Omwana w’Omuntu anaatera okubonyaabonyezebwa." 13 Awo abayigirizwa be ne bategeera nti yali ayogera ku Yokaana Omubatiza.