Pular para o conteúdo
Publicidade

Matayo 18:1-6,10

Omukulu mu Bwakabaka obw’Omu Ggulu

1 Mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bajja gy’ali nga bagamba nti, "Ani asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu?"

2 Yesu n’ayita omwana omuto n’amussa mu makkati gaabwe. 3 N’abagamba nti, "Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ng’abaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu. 4 Noolwekyo buli eyeetoowaza ng’omwana ono omuto y’aliba asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu.

5 "Na buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange ng’asembeza Nze. 6 Naye alyesittaza omu ku baana abato anzikiririzaamu, asaanidde okusibibwa olubengo mu bulago asuulibwe mu nnyanja."

Olugero lw’Endiga Eyabula

10 "Mwekuume obutanyoomanga n’omu ku baana bano abato. Kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe ennaku zonna babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.