Yesu n’Abaana
13 Yesu ne bamuleetera abaana abato abasseeko emikono gye abawe n’omukisa. Naye abayigirizwa ne bajunga abaabaleeta.
14 Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, "Mukkirize abaana abato bajje gye ndi so temubaziyiza, kubanga abafaanana ng’abo be bannannyini bwakabaka obw’omu ggulu." 15 N’abassaako emikono n’abawa omukisa n’alyoka avaayo.