3 Abafalisaayo ne bajja gy’ali bamugezese nga bagamba nti, "Kikkirizibwa omusajja okugoba mukazi we olw’ensonga n’emu?"
7 Ne bamubuuza nti, "Kale lwaki Musa yalagira nti omusajja bw’abanga agoba mukazi we amuwenga ebbaluwa ey’okumugoba?"
8 Yesu n’abaddamu nti, "Olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe, Musa kyeyava abakkiriza okugoba bakazi bammwe, naye nga okuva olubereberye tekyali bwe kityo. 9 Era mbagamba nti omuntu yenna anaagobanga mukazi we okuggyako olw’obwenzi, n’amala awasa omulala, anaabanga ayenze, n’oyo anaawasanga oyo agobeddwa anaabanga ayenze."